Leviticus 24:5-9

5 a“Ojja kuddiranga obuwunga bw’eŋŋaano obulungi ofumbe emigaati kkumi n’ebiri ng’okozesa desimoolo bbiri eza efa
Efa ezo ze liita nnya n’ekitundu
.
6 cOnoogitegekanga mu nnyiriri bbiri nga mu buli lunyiriri mulimu emigaati mukaaga. Onoogiteekanga ku mmeeza eya zaabu omuka awali Mukama. 7 dEra ku buli lunyiriri onooteekangako obubaane obuka nga bugendera wamu n’emigaati nga kye kijjukizo eky’ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro. 8 eEmigaati egyo ginaategekebwanga awali Mukama buli Ssabbiiti awatali kwosa, ng’ekyo kikolebwa ku lw’abaana ba Isirayiri nga ye ndagaano ey’emirembe n’emirembe. 9 fEmigaati egyo ginaabanga gya Alooni ne batabani be, era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga giva ku kiweebwayo ekitukuvu ennyo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro nga kye kiragiro eky’enkalakkalira.”

Copyright information for LugEEEE